Intro Aha Engano hmm Exodus 23:8 Chorus Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, Onyambanga Omugaati guleme nga kunziba mumwa, Gunemesse Okwoogera amazima Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, onyambanga Enjaala ne bweba enzitta, Neme kutunda busiika! Verse 1 Ehh Kati Omugatti gulabe dukka Abadde tagumanyi Nkusaba ssembeza Entebbe Omugatti twasooka na kugulaba Mu biseera Bya Christo Nga asiibye enjala emuluma, Omubi Sitani bweyasembera okumukema, Mugaati gweyakozesa Mu bwangu tudamu okugulaba Nga Yesu abuliira njiiri Ekibina enjaala neluma! Kwoolwo omugatti kale olwagabwa, ekibina enkeera kyakula omugatti toguzanyisa Tutwo mu French revolution, munjaala era omugatti yeyali solution Marie Antoinette agenda azanyira mugatti, Enkeera kumakya yakeera ku execution! Kulwo mugatti Amazima go gabula, Abantu ensonyi Zikala Ha Wabula omugatti twajilwaa! Chorus Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, Onyambanga Omugaati guleme nga kunziba mumwa, Gunemesse Okwoogera amazima Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, onyambanga Enjaala ne bweba enzitta, Neme kutunda busiika! Verse 2: Ha! Wano mu kyasa kye 2000 Omugaati gwatabusse kati negubula asaala Gwajja gutambula mpola mpola Gugwoo gusaze ensalo paka mukanisa, Mukanisa nti gwaagwa ku mudinkoni Olutalo lwo mutaputa welwava no mudinkoni, Mudinkoni ye yalina akagatike Ngalina akabinjake omugaati balya bakutta Kati nayonoona nakuna kuna Nga teli amugambako Kuba omugaati bagulya Ha! Laba omutaputa ye bwatabuka, Ah ah kino kisuse amazima ndi wakugata Naye omutaputa olwaali okwasama Omugaati bamupatika amazima negabula (Cough) actually, Omusajja wakatonda talina buzibu yadde, Mwe temwategedde, Yabadde birthday Ehh Yesu Chorus Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, Onyambanga Omugaati guleme nga kunziba mumwa, Gunemesse Okwoogera amazima Onyambanga, onyambanga, Onyambanga, onyambanga Enjaala ne bweba enzitta, Neme kutunda busiika! Verse 3: Acha cha cha cha Omugaati ttabu yenyini, Kamasu ka sitani kenyini Muno mwayita okuba pulani Okukutula zi mission enene Okubba, okutta, Nti bwatyo nokutusubya eggulu Omugaati olumu guba gwa nganoo, Gwa nussu, olulala guba gwabiffo Naye mukama omubiri gwe wagukola, Enjaala bwetuluma omugaati guba guyooya Kati Mukama nkusaba baako kyokola, Bwotakikola omugaati gwa ku tutugga! (Ani alinye muwaya? Anioyo? Oyo yalidde) Fire! Twookya omugaati abagulya baswankula, Twookyela ddala omuliro mwe abagulya bagubirira Mulinga abataamanya, Nti waliwo gwe gwatugga, Yuda Eskarioti ne Ananiya, Olwaagulya tebawoona Nti naye nga nkwebaaza, Kulwabatono abaguuma Zze munyenye mubanga ffe zze tuba tutunulira, Laba Yesu yagudduka, Yozefu yagudduka Saddulaaki,Mesaki ne Abeduneego, Omugaati bbo tebagulya Nga obulamu bunyigga, Enjaala nga ebuula okunziita, Nyweeza nga Yozefu, Omugaati bwengulaba ngudduke ayi! Outro WRITER: Coopy Bly PRODUCER: Joshwills STUDIO: Backyard Studios LYRICS VIDEO: Andrew Kyali ( Backyard Visuals)
Advertisement
Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
1528 Views
Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
1338 Views
Wana Wankya | BentiBoys Africa
7320 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
7445 Views
Dont Stop | Bebe Cool
4340 Views
Correct | Ykee Benda
3565 Views
Obubadi | Dax Vibez
1887 Views
Sugar | Rebo Chapo
1069 Views
Sembera | Geosteady
1810 Views
Advertisement