Olina Kyononya, Ask Me??


Lyrics | Nseyeya By Sarah Musayimuto

View Sarah Musayimuto's Profile
Download the MP3


INTRO
Lwaleero
Maama agenda n\'omulunji
Omugave Namakula Sarah

VERSE 1
Waalaalala leero nagudde
Ku kyombo ky\'omukwano 
nze njabudde
Kunnyanja y\'ekiro 
bwengolodde
Sweet ali ku nkasi 
luno nteredde
Katonda kyaterekera 
tekirivunda [iye]
Ndaba kuki omulunji 
nga nnaliinda bwadda [iye]
Nakanya ssaala 
nga nninda ssaawa [iye]
Kyadaaki etuuse 
eno jewandaganya [iye]
Mbadde munju eyo beibe beibe
Embeera y\'obudde nekyuka
Olutiko nelunjiwa 
omutima negwesiba
Amagulu neganfamba
Nemmanya atuuse 
omwana w\'abalunji
Nsingo biseera 
ngenda n\'omulunji
Angoba ankoppye 
nnamba njabudde ngenze
Maama agenda n\'omulunji
Angoba ankoppye 
nnamba njabudde ngenze
Maama agenda n\'omulunji

CHORUS 2X
NSEYEYA NSEYEYA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
SIIBULA TAATA 
[ngenda, ngenze kufumba]

NENJULA OMUKADDE MAAMA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENGANDA ZANGE N\'EMIKWANO 
[ ngenda, ngenze kufumba]

BA KOJJA BA SENGA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENTANDA YAMMWE KWENGUMIDDE 
[ngenda ngenze kufumba]

KANGENDE [nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
MUNGAMBIRE JAJJA 
[ ngenda, ngenze kufumba]

VERSE 2
Omwana w\'abalunji 
antambuza akanaginagi 
nkwanjula mu bakadde bange
Ono ye mwami wange 
lwakubabuzaabuza 
ssi malaika ah
Ndabikaye mmwe yebakanze 
bweyali nange okunsisinkana 
ku luzzi wansi
Yajja nansituulira amazzi 
namperekera ppaka waka 
olwamala nga agenda
Olundi yajja naasaka 
ebbidde nansogoolera akabisi 
nandeetera mbu nnyweko
Weewaawo maama yadde wanngana
Kannema okwebeera 
akabisi k\'omwana
Mpuliddeyo abijweteka 
nti illuminatti ekintu kya ssente 
ekyo mukireke sweet yakeera
Nfunye nnyonyi nnyange nneetya
Ntendereza ddunda eyawunda
Nfunye nnyonyi nnyange nneetya aa ah
Ngenze n\'omulunji

REPEAT CHORUS 2X
NSEYEYA NSEYEYA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
SIIBULA TAATA 
[ngenda, ngenze kufumba]

NENJULA OMUKADDE MAAMA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENGANDA ZANGE N\'EMIKWANO 
[ ngenda, ngenze kufumba]

BA KOJJA BA SENGA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENTANDA YAMMWE KWENGUMIDDE 
[ngenda ngenze kufumba]

KANGENDE [nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
MUNGAMBIRE JAJJA 
[ ngenda, ngenze kufumba]

VERSE 3
Wentuse nzikakkana mulongo wange
Weebale butanswaza mu bakadde bange
Ondabiranga maama wange omulunji
Anzaalira omulongo wange
Nsiimira taata beibe
Nti eno taata asiimye
Balamu bange,  abo baganda bange,  
obandabira nnyo bafuuka musaayi gwange
Luvuutu lwa love lwendeese
Nkakasa kimu nzize kufumba sweery

REPEAT 2X
Okugonda naagonda
Okufumba naafumba
Ngende muboobereze ono ettooke
Sweet twanguwe mubiite mumpewo mmubikke
Afuuse ki baby mpembejje

REPEAT CHORUS 4X
NSEYEYA NSEYEYA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
SIIBULA TAATA 
[ngenda, ngenze kufumba]

NENJULA OMUKADDE MAAMA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENGANDA ZANGE N\'EMIKWANO 
[ ngenda, ngenze kufumba]

BA KOJJA BA SENGA 
[nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
ENTANDA YAMMWE KWENGUMIDDE 
[ngenda ngenze kufumba]

KANGENDE [nga nva mu lujja 
lwa taata ngenda]
MUNGAMBIRE JAJJA 
[ ngenda, ngenze kufumba]




View More Lyrics