🎼Nja nja njagala kulya Njagala kugaaya Njagala kuwuuta Ha! Eyo Kayaazi Warap Dauson Magical 🎼 Verse I 🎤They say the best things in life are free Naye ba kijaana ndaba basiiba batuyaana Bingi mu bulamu gwe biruma Naye ate waliwo ebisinga mwana (BUUJA!) Omusujja gukuluma nonywa omululuuza Ssenyiga akusindogomya emyasi nokuba nonyiza Stress aluma mbu nabamu abakozza Naye baaba teri kiruma nga njala ku nsi kabulaaza Ffenna lubuta yensonga gaana oba kkiriza Enjoka zitokota nga tolina sowaani mwokoza Simanyi lwaki ennaku zino ssente zaabula🤔 Naye enjala ekuluma ne bwe webuzabuuza🎤 HOOK 🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa🎙 CHORUS 🎵Ndaaga lwa njala Nyongeraayo ku mmere endala Anti akafa omukutto tekaluluma, Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa Ahhhh Ndi wa mmere yange Ndi wa ssente zange Enjala eruma ennaku zino (BADMAN!) Temanyi mukulu oba muto🎵 Verse II 🎤Bagamba love eruma nga ulcer tezzinakufuna Nze enjala nagivaako kuba teri kigifanaana Abayaaye mu tonninnyira nnyongeraako tabava ku mimwa Nkuba double bwemba ssikuse nze siri ku njala Singa tewali njala singa tetukola Singa tusiiba waka remote ku TV netuwwumula Ku beach sun bathing amagulu netugolola Nabatunda ebintu wonna bandibadde tebabiseera Naye enjala egenda nekuluma nowulubala Nokulowooza ebyamakulu oba tosobola Omuyaaye nga akkusse akutunuliira abadala Naye nga yamulumye, Oyinza okulowooza yanywedde obukomera🎤 Hook 🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa 🎙 Chorus 🎵Ndaaga lwa njala Nyongeraayo ku mmere endala Anti akafa omukutto tekaluluma, Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa Ahhhh Ndi wa mmere yange Ndi wa ssente zange Enjala eruma ennaku zino(BADMAN!) Temanyi mukulu oba muto🎵 Verse III 🎤Obuzibu obuli wano ssi kulinnya kwa Dollar Ssi bulwadde butuluma naye butono bwa makungula Omusana gugenda ne gwaka ebimera ne bisiriira Naye akamwenyumwenyu kajja nga akakuba katonyerera Ne bwolinnya ennyonyi enjala ogenda nayo e bunayiira Naye afazaali bweba tekuluma obaako wotandikira Oyiiya ku mulimu obeera namaanyi agakola Nebwodda ewaka nga bakkusse bonna nno bakusanyukira Embeera ekyankalana nga ku makya tewafunye kyakulya Ate nga nekyemisana ndobo gyokipangira Bwotunuliira abakkuffu wenna emeeme nekukkirira Ate bwoba tolinna nna kyaggulo embaga negwa nebidaala🎤 Hook 🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa 🎙 Chorus - X2 🎵Ndaaga lwa njala Nyongeraayo ku mmere endala Anti akafa omukutto tekaluluma, Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa Ahhhh Ndi wa mmere yange Ndi wa ssente zange Enjala eruma ennaku zino (BADMAN!) Temanyi mukulu oba muto🎵 🎵Ndaaga lwa njala Nyongeraayo ku mmere endala Anti akafa omukutto tekaluluma, Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa Ahhhh Ndi wa mmere yange Ndi wa ssente zange Enjala eruma ennaku zino(BADMAN!) Temanyi mukulu oba muto🎵 Credits Composed and written by St. Maxi Mayne Audio produced by: DAUSON MAGIC and EYO KAYAAZI
Advertisement
Wana Wankya |
2875 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
3791 Views
Dont Stop | Bebe Cool
3067 Views
Correct | Ykee Benda
2527 Views
Obubadi | Dax Vibez
1677 Views
Sugar | Rebo Chapo
950 Views
Sembera | Geosteady
1346 Views
Lindako | Maurice Kirya
691 Views
Sinza | Eddy Kenzo
1855 Views
Am Badder featuring Jowy Landa | Grenade Official
2451 Views
Advertisement