Olina Kyononya, Ask Me??


Sing Along Lyrics


Nateleza by Sarah Musayimuto

INTRO
Yeee tulutu
Dudu dudu dudu
Dudu dudu duduuuu
Yehee eh

VERSE 1
Gwenalootanga nga 
naye ansoota nga ampa 
nnyo care omanyi
Abakyala ebitunyumira mwami 
n\'ompembejja nga baby
Omuntu onulunji tazuulika,  
kati nkujjewa nze
Era buli maka,  
basowagana ne baddamu
Ebizibu tebabidduka,  
kuba nejoddukira era bikutaayiza

CHORUS 2X
NATEREZA EBYASIBA MUKWANO
GYIRA ODDE EMBEERA ENTABUSEEKO
NJA KWEWALA OBUTADDA 
MU NDOLIITO ENJOVU TEREMWA 
MASANGA GAAYO

VERSE 2
Bino mbitandikirewa okubinnyonnyola 
simanyi gyewagenda
Ssibeera nga nkuuma lubugo 
lubaale mubbe nga nneetisse 
byoya bya nswa
Amaaso go ago togamamaazanga
Alabyeyo abasinga nange
Nnakula bulynji okuva ku mutwe
Byonna byeweegomba ndi lusuku lwo
Manya ndibeerawo mumbeera embi 
yonna ddala ndira ku luuyilwo olwa ddyo
Kyokka love e kitengejja 
nnyanja na mayengo

REPEAT CHORUS 2X
NATEREZA EBYASIBA MUKWANO
GYIRA ODDE EMBEERA ENTABUSEEKO
NJA KWEWALA OBUTADDA 
MU NDOLIITO ENJOVU TEREMWA 
MASANGA GAAYO

VERSE 3
Kati sigala nange 
mukifo ky\'okulwananga entalo 
ez\'omumaggwa olw\'abawala
Abakyala tuguma,  
naye era ngumye,  
nafuuka lugogo kunju
Ssiigaane,  
okubeera kiiso kya mbuzi 
ekireka omussi
Naye omuto era gyamanyi 
enkuba gyetonya, 
nze ssirinaayo mulala
Ntuuse n\'okwevuma nti 
lwaki nze okwagala 
kundi mu musaayi
Ng\'obulumi bummizisa 
amangota ssimanyi jooli
Kati lowooza joovudde nti 
obulamu wootali bubeera tebunyuma
Abo abawala abakuganza,  
gyetuyise naawe tebamanyiyo

REPEAT CHORUS 2X
NATEREZA EBYASIBA MUKWANO
GYIRA ODDE EMBEERA ENTABUSEEKO
NJA KWEWALA OBUTADDA 
MU NDOLIITO ENJOVU TEREMWA 
MASANGA GAAYO


VERSE 4
Ani amusigudde
Ani amulabyeko bannange
Eyansiba omutima naguwalula
Agusibire gyegwewuubira
Kale nnali ndowooza nti oba
Oba tetulinyiigaa ag
Mpulira muli 
eddoboozilyo mu matu, 
mwelyasigalira

Ani amusigudde
Ani amulabyeko bannange
Eyansiba onutima naguwalula
Agusibire gyegwewuubira.

View Sarah Musayimuto's Profile   Download the MP3

View More Lyrics