Verse I Mpandiiseeyo kano ka letter Kali mu lulimi Luganda Mulimu obugambo obuwooma, eh eh Nali nakwagala dda okuva edda Ssagamba nga neetya Kati ke nkufunye nze sirinda, babe Love gye nina nasikira ya jajja Nkakasa tolijula nedda Mmanyi n’okuwoomya ebikaawa, yeah eh Jangu nfuuke ssebo Tugobe n’empewo Love nkyalina natural Nnyingi eri ku ntobo Kwegamba wawonye abo ba Tito Abatona bi kkedo Weepimire eno oli ku ddipo Gira twala muntu wo Chorus Mukwano omwenyanga olumya Wawonye essunsa ne bu katunkuma Abalala mukkirire ffe twambuka Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala Wawonye essunsa ne bu katunkuma Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba Verse II Najja n’omuliro gwali gwaka N’ongobesa ebisweta Naye ne ŋŋuma nti kiriba edda, yeah eh Abaali bakugamba mbu ndi Casanova Yali propaganda Byonna bye baakugamba byali bya bulimba, yeah eh Nawonye obuwala obutunula ng’obwafa Butokota nga generator! Buzungazunga nnyo ku basawo Abaganda, ooh oh Tirikubona nti oli mukaire Ppaka ng’onzinze mu mugaire Ndija kuwanga omudenene Onsiikirenga ku mpengere Oyenda kunwa ki omusongole? Saba ky’oyenda nkuleetere Bale babone bali ku bi ffene Gula n’ekereta mbabongole Chorus Mukwano omwenyanga olumya Wawonye essunsa ne bu katunkuma Abalala mukkirire ffe twambuka Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala Wawonye essunsa ne bu katunkuma Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba Verse III Ono ssaamusanga ku kkubo Kyova olaba nga wa nkizo N’abaali bamwagala njolo Nze bwe najja ne beekuba endobo Laba yenna taliiko na nziro Tebaamufuuyisa mpewo Nŋamba kyotalina nze muntu wo Ssisiba nkwata bukwasi mu nsawo Nze nina okusuutanga Nteekemu akajanjanja Abaali baduma nabakuba engwala Badduka na kiwalazima njabala Nfunye omuntu wange Chorus Mukwano omwenyanga olumya Wawonye essunsa ne bu katunkuma Abalala mukkirire ffe twambuka Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba Nze ssiri obwo bu mmwanyizaabala Wawonye essunsa ne bu katunkuma Te-te-temunenya nze ne bwe nanaagira Mmwe musaakaanye ffe tuwoomesa ddiba
Advertisement
Wana Wankya |
1914 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
2949 Views
Dont Stop | Bebe Cool
2578 Views
Correct | Ykee Benda
2165 Views
Obubadi | Dax Vibez
1441 Views
Sugar | Rebo Chapo
765 Views
Sembera | Geosteady
1118 Views
Lindako | Maurice Kirya
505 Views
Sinza | Eddy Kenzo
1644 Views
Am Badder featuring Jowy Landa | Grenade Official
2149 Views
Advertisement