Intro Sabula Baba bawulira Abato baba bawulira Okwesortinga kiba kikulu nnyo Okusowagana bya kitiibwa nnyo Okusowagana ekyo kisuffu nnyo Baur Okkubagana omugongo kyakabi Nnyo nnyo... Chorus Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Verse I Aah, nga mwekwana nga mwatijja Mwatulanga babiri era mwateesa Mwalondagana ne musiimagana Muzadde n'abaana kati baweze bana Musiiba mwerangira wano olutatadde Muyisinganya ebigambo ebinene mu bakadde Temukyawa kitiibwa abo abato be muzadde Lwaki temudda gye mwasookera Eyo, gye mwatuulanganga mwembi Ne mugaaya ennyingo y'ekikajjo mwembi Buli omu n'akweka munne empisa embi Kati mwafuna amaka ekisenge y'ensonga Chorus Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Verse II Ah bannange tukuze Tuggyewo eggume ery'ekito Lw'osobezza leka bakugambeko Sajjalaata kirungi Naye manya ensobi zo Gwe naluwali ojja kufuna empi zo Wano Lutaaya ssebo yakubye mukazi we Olw'omugambako obutalya kyaggulo wuwe Ensimbi z'akoze azimalira mu mwenge Emirimu gy'awaka, agirekera mukazi we Mu bafumbo temubula nsobi Okuwa??ana ekitiibwa ky'ekikakkanya ensobi Okuwuliziganya, ky'ekimalawo ensobi Obufumbo y'ekkooti y'amaka go Chorus Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Tuula mukkaanye Ensonga aah ah, ensonga Oh muteese nga muli babiri Ensonga aah ah, ensonga Bridge Gwe, well this is a Magical Empire Diggy Baur Bafana Magical Gwe, well this is a Magical Empire Diggy Baur Sabula tugende e Kampala Verse III Omukwano nga gukaaye labayo Amaka mangi gazaaye eyo Abaana bangi bakooye Ne be bazadde, nabo beecanze eyo Bano badigize babbaaze Omwana akaaba ekiro mbunno tayonse Ono ye enku yayasa zayaka mwenge Ba bufumbo bwalema n'akyalira oli eyabaaze Gavumenti ebiyingiddemu Abaami n'abakyala beeyawuddemu Laba mu kkanisa amateeka tugaggyeyo Eno mu Uganda oh kitalo nnyo Ono omukyala yaloopye bba we Mbu yamukase omukwano ng'ate mulwadde Mu bufumbo emyaka mingi bagazze Buli kimu kati laba my God Biki bino sitaani by'alanga? Mbu obufumbo bwa kontulakiti bwe busaana! Ngamba biki ebyo abakungu bye bateesa? Ngamba bano abagguse empisa ze baleeta Mukkakkane, mmwe muteese Omukyala n'omusajja mukkaanye Gwe bigaane, mukkakkane Mwanjaale obufumbo butereere Baur Chorus Ensonga Tuula mukkaanye Ensonga (oh babiri) Ensonga (Omusajja yongeza) Ensonga (Omukyala omukwano yongeza) Ensonga eh aah Oh muteese nga muli babiri Outro Ensonga Tuula mukkaanye, omukwano kuba kukkaanya Ensonga Omukwano ky'ekirabo ekiva eri Katonda Ensonga Bwe mukkaanya omukwano guwooma ate gunyuma Ensonga Kale mukkaanye nga muli babiri mu kisenge kyammwe Ensonga Rrrrrrrrrrrrrrr bba! Ensonga aah ah Ensonga Disco Music Empire, yeah
Advertisement
Ensonga | Ziza Bafana
1916 Views
Nazaala 2018 | Ziza Bafana
8515 Views
Guluma Nasomye | Ziza Bafana
17639 Views
Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
1345 Views
Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
1230 Views
Wana Wankya | BentiBoys Africa
7149 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
7292 Views
Dont Stop | Bebe Cool
4319 Views
Correct | Ykee Benda
3554 Views
Obubadi | Dax Vibez
1869 Views
Sugar | Rebo Chapo
1067 Views
Sembera | Geosteady
1783 Views
Lindako | Maurice Kirya
765 Views
Advertisement