Olina Kyononya, Ask Me??


Sing Along Lyrics


Dembe - Call For Peaceful 2016 Elections by H.E Bobi Wine

--Intro--
We no proud of the violence
We condemn the violence
Rasta 
No pride in the violence

Hear me now
Mbalaba Bakubagana
Balumangana 
Batemagana
Mbalaba bagoobagana
Mu kiffo kyo ku lungamya
Omuntu eyandi badde wo 
mu kulungamya abavubuka
Kati ate yabakulembela 
okukola obutabanguko
Bino wenabilabye 
natidde nyo
Okulwana mu bavubuuka 
kususse nyo
Ate abakulembeze 
kibaswaza nyo
Wama abavubuka 
nze nsaba tukole 
bwetuti
 
 -- Chorus --
Nsaba okulonda kubele kwa 
DEMBE
Nobuyinza buchuke mu 
DEMBE
Abana Uganda mulonde mu 
DEMBE
Awo obulamu butunyumile
Nsabye, 
Okulonda kubele kwa
DEMBE
Nobuyinza bukyuuke mu 
DEMBE
Bana Uganda tubele ba 
DEMBE,
Nomwaka guba nyumile

-- Verse 1 --
Okuva mu independence 
tuli mu ntalo
Kyekyiganye ne Uganda okula 
lwa ntaalo
Buli Government 
ejja na ntalo
Ela bagala okugenda 
zzibe nga ntalo
Bachikola batya 
eli ebusuka nsaalo
Abakyuusa awatali 
kulwana ntalo
Lwaki,
temukitandika ba ssebo
Ate mwagamba 
kyekyabalwanisa entalo
Lwaki oyoza 
engooye enjelu
Ate nozanika 
ku kiiti kyenzilo
Lwaki temulabila 
ku Mandela
Yafuga kiimu 
n'atta bendela
Abakulembeze 
okulwa mu ntebe
Kye ki leetela Uganda 
okufuka eddebe
Buli ayogela kko 
Ng'olwo afuse mulabe
Ekyo tekyituzimba 
tuba tudda mabega
Abantu bwobaleka 
neba londa wo
Omuntu atakooze 
neba mujaawo
Ekyo ne semateeka akyogela kko
Bwomu bikula kyosokela kko

-- Chorus --
Wabula
Nsaba okulonda kubele kwa 
DEMBE
Nobuyinza buchuke mu 
DEMBE
Abana Uganda mulonde mu 
DEMBE
Awo obulamu butunyumile
Nsabye, 
Okulonda kubele kwa
DEMBE
Nobuyinza bukyuuke mu 
DEMBE
Bana Uganda tubele ba 
DEMBE,
Nomwaka guba nyumile

Now this is a message 
to every Ugandan
Especially the candidate 
right from L.C 1 
Straight up to president
Violence is backwardness 
while peace is Godliness

-- Verse 2 --
Gano gemazima gali agakawa
Ata nalabuka kati nkubusa boyi
Bwoba nga mu mazima oyagala Uganda
Ne mubikolwa okyilaga nga
Tuzimbe omusinji oguyamba Uganda 
Nabana baffe kwebali labilamu
Amanye, 
nti omuntu ogenda mu buyinza
Techi-kyetagisa kuyiwa musaayi
Amanye, 
nti abantu besimbawo
Abantu nebalonda kko
Asinze nabafuuga
Gwebasinze namukwata nemu mukono
Naye, abakulembeze mutalaga kiimu 
kyakulwana
Lwaki mutukuza bubi
Laba bwetukuze nga tumanyi kiimu 
kyakulimba
Lwaki mutukuuza bubi
Nze bwenjogela kukitufu 
Nonzingulako emisango
Awo oba otufuze bubi
Ayawukana ne ndowoza yo 
tekyimufula mulabe wo
Fena tuli bana U
Omukulembeze omulungi 
awuliliza ebiluma abantu
Nabaako kyakola wo
Buli muna Uganda wooli 
kikukaakata kko okukuma emirembe
Ffena tuli bana U

--- Chorus ---
Nsaba okulonda kubele kwa 
DEMBE
Nobuyinza buchuke mu 
DEMBE
Abana Uganda mulonde mu 
DEMBE
Awo obulamu butunyumile
Nsabye, 
Okulonda kubele kwa
DEMBE
Nobuyinza bukyuuke mu 
DEMBE
Bana Uganda tubele ba 
DEMBE,
Nomwaka guba nyumile

Dan Magic is a real magician
Dream studio jeguvugidde
Dan Magic is a real magician

Yah man
For God and my Country
Kampala Uganda
Africa
Booaaaaha
Lyrics by mp3jaja.com

View H.E Bobi Wine's Profile   Download the MP3

View More Lyrics