ANAMPANGUZA {Romans 7:15,24} INTRO [GagamaGoo Kinene M.B.]: MUKAMA Yamba Guno omubiri gulimba!! Kibi nnyo nti embala ya Adamu eno gyendimu Ebya YESU ssikyasobola bbivaamu Wabula neetaaga deliverance-kusumululwa VERSE 1[GagamaGoo Kinene M.B.]: okuva-mu buno obwenzi, obukaba, n’emize gy’ekivubuka ng’okwaaka Ebinsuza nkukunadde-nsula mukuwankawanka Tuttunka, kilabika mmutwe nyinamu ekiwuka Laba mmala kwekoona nenzijukira okubuuka, Kyokka nebwembuuka, maliriza ndi ku ttaka Ngwa nemmenyeka, ssirina anampeeka, bonna bankeneka MUKAMA Weebazibwe nti mpalilizibwa nennyimuka Ntambula mpenyera, bwenseerera nengwa-bwennyimuka Am as tho a weakling ssiwera nninga omulwadde wa cholera-bindeeze enkaka Biwoomerera ndaba ngenderera, Mpozzi nga ssaalokoka YESU mpozzi nga tewanfiirira banfera Ndi mwaana Wo tebimaleewo no t’Olindeka nzekka Tebinkorera – nyimusizza amaaso Gy’Oli Nsobozesa okubisomoka CHORUS [Price Love]: On this road to Canaan’s land Am lettin’ go and lettin’ You I surrender all to You, I will carry my cross follow you Day to day nze nkweekutte Ye Ggwe Anansomosa Ye Ggwe Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… VERSE 2[GagamaGoo Kinene M.B.]: (Now I come face to face with myself I got issues MUKAMA Nyamba ssaagala kuswaala) Ngalaamilizza kakeeka, ssikyeetegeera nkwaatibbwa amateeka Ndi mukkomera mpeekeera omulabe ansekerera, anteeka Laba ansimidde obunya nsitula nzirukidde gy’Oli Anampeeka, Mmaze ebbanga ng'emikono gy’Oli mpanika, jinfuuyirira Nkweegayirira MUKAMA Yimuka wansi w’Omukono gwo nkweeka Nnumwa nnyo buli lwebuwungeera, nkaaba era Anti mukiro mbeera ng’atalaba era ntambula ntomeratomera Ndi munafu nkekkera, nga ttooto mu nzikiza buli akakoona nkeekengera Omubi aweerezza ebizuka bijja byemoolamoola maliriza mmegerera Mbeera YESU Nkulembera ogwange ngwetisse ngoberera Tuli mu dduka dduka lutalo ddala Tulwaana n’embala yebbala ly’ekibala Adam gy’eyatulekera CHORUS [Price Love]: On this road to Canaan’s land Am lettin’ go and lettin’ You I surrender all to You, I will carry my cross follow you Day to day nze nkweekutte Ye Ggwe Anansomosa Ye Ggwe Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Verse 3(GagamaGoo Kinene M.B…) Buli gwensobezza nkweetondera Nakwata ekirima nentunula emabega-Nsangi amazike gamweggweera Ekibi kibi kuba kufa kwekyandeetera y'empeera, kyandeka nkweebera Kinnuma okuba nga byenjagala ssi byenkola oluusi ssigenderera Nyimusa’amaaso gy’Oli Aleeta essanyu enkeera Kisa kyo kiddizibwa bujja buli olukeera Yenze, nga bwendi Gy'Oli nzize Nkweetaaze Oli Waggulu Wabuli mbeera Kinfuukidde ezzike kuva ku adam kilondoola nze kingoberera Nzunga ng'ensowera YESU Bw'Otambeera zinsanze Emberenge evunze ensi efunze Mu bitonde byonna kunsi teri kisinga Kukwetaaga nga nze CHORUS [Price Love]: Mmanyi byenjagala ssi byenkola Byessaagala ate byenkola But am pressing on Towards the mark To win the prize In Jesus.. In Jesus… Mmanyi byenjagala ssi byenkola Byessaagala ate byenkola But am pressing on Towards the mark To win the prize In Jesus.. In Jesus… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Outro (GagamaGoo Kinene M.B…) (Exodus 33:20)No man sees GOD & still lives No man sees CHRIST & still sins Thanks be to God Kuba nfudde eri ekibi omubiri gw’Adamu Kati Ndi mulamu Mu YESU Ekkubo Amazima n’Obulamu Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza…Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza… Anampanguza…
Advertisement
Kitonde Kijja featuring Bahati X D Epitome | GagamaGoo Kinene
1071 Views
Anampanguza featuring Price Love | GagamaGoo Kinene
1025 Views
Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
1466 Views
Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
1307 Views
Wana Wankya | BentiBoys Africa
7245 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
7389 Views
Dont Stop | Bebe Cool
4328 Views
Correct | Ykee Benda
3558 Views
Obubadi | Dax Vibez
1877 Views
Sugar | Rebo Chapo
1069 Views
Sembera | Geosteady
1790 Views
Lindako | Maurice Kirya
768 Views
Advertisement