Intro Judgement to the bandit to kill our people Serwajja okwota akira nnyinimu entanama Why do you think ure the first And last to abuse rights? Nothing to fear but fear itself Alright! Verse I Twali mu Uganda yaffe Baatusanga tweyagalira kuno ne bajja Ne batusalako, Bajja namagatto gaabwe Nobusaati obwali buyulise ku migongo Ne tubasembeza Baafera bakadde baffe Ne tubeesiga ne tubakweka mu kapanga Ne tubafiirira Baalya ne lumonde waffe Twali bagagga, Be baamalawo ente zaffe Babbye namataka gaffe Ne gye twali twaziika abantu baffe bajja Ne babasendawo Kati bawamba baana baffe Babatiisa nti buli ayogera wano amazima Abeera wa kufa Babakoonye obulenge Nabamu babasse, Babasudde mu bitoogo Batusigamu katengo Okuggyawo bino naffe Tubaddize katengo Chorus Abaana ba wano Temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka Ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera nakatengo Abantu ba kuno temuba na kutya Ekisibye enkyukakyuka kwe kutya Batufuga bumbula lwa kutya Nga be tutya ate be basinga Okubeera nakatengo Verse II Baaleeta ne curfew ne tumugondera Ne bamukozesa okutubba nokutukyunya Bajja ne mu bufunda ne batukyambuwa Ngamabbaala gabagagga go mwattu gakola Obucaali bwa wansi buba buggale Nga waggulu, bo ebyabwe biba biggule Laba abaana ba boda bali ku ndere Tebacacapa, yadde okufuna ku kamere Bino biriwo lwa katengo Buno obusajja mwe tebutuzannyira ku bwongo Bazadde baffe baabuweeka ku migongo Naye kati ssebo bwo bwabafuula abayungwe Wabula, njagala mukimanye tebutusobola Bulidde era bukkuse tebwesobola Abo be mukubagana be basinga okutya Nebwotulisa balloon baweta ne batema Chorus Abaana ba wano Temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka Ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera nakatengo Interlude Well this is a special dedication To all the political prisoners member, it’s a Dan Magic Production You dont know Our nation is being mortgaged And is we Thats being used as collateral So member that Verse III Laba obuwumbi bwe beewola Okulwanyisa obulwadde Bagula mamundu na teargas Ate zo ssente ze beewoze Bwe tuba ba kusasula Kiritwala myaka nga kinaana Gye tukoma okutiribira Gye bakoma okunyagulula Kiri mu glass Nti Uganda esobolebwa Bwoba nga weebase Kati eno yessaawa osisimuka Kiri mu glass Nti Uganda etundibwa Chorus Abaana ba wano Temuba na katengo Ekisibye enkyukakyuka Ke katengo Batufuga bumbula lwa katengo Nga be tutya ate be basinga Okubeera nakatengo
Advertisement
Akatengo | H.E Bobi Wine
3210 Views
Corona Virus Alert featuring Nubian Li | H.E Bobi Wine
1851 Views
Osobola featuring Nubian Li | H.E Bobi Wine
4966 Views
Tuliyambala Engule | H.E Bobi Wine
6313 Views
Situuka | H.E Bobi Wine
4762 Views
Dembe - Call For Peaceful 2016 Elections | H.E Bobi Wine
3480 Views
Tomusobola | H.E Bobi Wine
2553 Views
Kampala - Ssi Kibuga Kya aba Fala | H.E Bobi Wine
5003 Views
Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
1339 Views
Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
1229 Views
Wana Wankya | BentiBoys Africa
7147 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
7287 Views
Dont Stop | Bebe Cool
4317 Views
Correct | Ykee Benda
3553 Views
Obubadi | Dax Vibez
1869 Views
Sugar | Rebo Chapo
1067 Views
Sembera | Geosteady
1783 Views
Lindako | Maurice Kirya
765 Views
Advertisement