Olina Kyononya, Ask Me??



Lyrics
Wansala By Victor%20Ruz


2565 Views

Download the MP3


Intro
Retro Records

Bridge
Amaziga ge nkaabye gamala
Gamala ge nkaabye gamala
Amaziga ge nkaabye gamala (eeh)
Gamala ge nkaabye gamala (aah)

Verse I
Nakkakkana nafuna we ntuula
Nsobole okwetegereza nga ngamba
Nti osanga kye ndaba kiringa ekifu
Nannyogoga nga na buli kafunda mwe mpita
Bakukulisa kunneewala
Katugambe kye nnali ndaba eno mu nsi yange
Ebigambo bingi byayita
Nga tewali kinsaasira nze
Omutima ogwange ogwalumwa, 
Ooh no
Kati njoya kwekweka
Mannya kukyusa nfuneyo amapya
Ngende ku kazinga ewatali anjeeya
Osanga oba embeera eriteeka
Etwale nebigezo nekyeya
Buli kigenda mu maaso ssikyebeera
Ssirinaawo kya kwekwasa nzikirizza
Wansala, wansala

Chorus
Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nootatya
Nogenda nofunayo omupya
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kwoyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala

Bridge
Amaziga ge nkaabye gamala
Gamala ge nkaabye gamala (hmmm)
Amaziga ge nkaabye gamala (gamala)
Gamala ge nkaabye gamala

Verse II
Bwe nakukwasa obwesigwa
Mu bye nasuubira temwali kwejjusa
Kati ndi mu maziga gwe eyo weesesa
Let me hope ne gwolina toomuzannyise
Kino ne mu byafaayo kirisomebwaako
Ntinno waabaayo omuntu
Eyasuula eyali amufaako
Nessuubi ne liggwaawo ooh oh
Nkucongratulatinga bravo
Ni gwe walonda akufittinga byebyo
Leka nsuubire
Taliwunzikira mu nsi eno eyange
Agambe wansala

Chorus
Wansala, wansala
Ebintu byewalinga weeyama
Wabireka awo nootatya
Nogenda nofunayo omupya
Kansuubire nti wakkuta
Olinywerera kwoyo nnyabula
Nze kanzikirize nti wansala
Wansala, wansala

Verse II - VJ Junior
Omanyi ku nsi ya Katonda
Bitera okubeera ebintu bibiri
Ebitambuza era ebiwangaaza omukwano
Ekisookera ddala bubeera bwesigwa
Ate ekyokubiri bubeera bugumiikiriza
Bwoba wasalawo okwagala omuntu
Naye nakwagala back
Kiba kitegeeza nti yakwesiga
Nakuwa omutima gwe
Naawe nomuwa ogugwo
Naye ekisinga byonna bugumiikiriza
Mu relationship tusisinkana ebintu bingi
Tulaba ebintu bingi
Tukemebwa mu ngeri nnyingi
Naye ate bwe tussaamu obugumiikiriza
Tusobola ogezaako osisinkana ebirungi bingi
Sso noolwekyo, ali eyo yenna
Ngolina omwagalwa wo
Ngakwagala nga naawe omwagala
Kye mbasaba mu mukwano gwammwe
Musseemu obugumiikiriza
Mujja tuuka ku birungi bingi




Download the MP3


Advertisement


More Lyrics From Victor%20Ruz


Ogeza | Victor%20Ruz
8589 Views

Wansala | Victor%20Ruz
2566 Views

Official | Victor%20Ruz
5263 Views



Newly Added Lyrics


Kati Nanga | Winnie Nwagi
13813 Views

Ten Over 10 | Azawi
15894 Views

Jeguli | Zafaran
5997 Views

Siri Safe | Acidic Vokoz
12471 Views

Byowaba | Bebe Cool
3545 Views

Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
4295 Views

Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
3579 Views

Wana Wankya | BentiBoys Africa
11786 Views

Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
12225 Views

Dont Stop | Bebe Cool
6095 Views


View More Lyrics

Advertisement