Olina Kyononya, Ask Me??



Lyrics
Njala By St.%20Maxi%20Mayne


918 Views

Download the MP3


🎼Nja nja njagala kulya
Njagala kugaaya
Njagala kuwuuta
Ha! Eyo Kayaazi
Warap Dauson Magical 🎼

Verse I
🎤They say the best things in life are free
Naye ba kijaana ndaba basiiba batuyaana
Bingi mu bulamu gwe biruma
Naye ate waliwo ebisinga mwana (BUUJA!)
Omusujja gukuluma nonywa omululuuza
Ssenyiga akusindogomya emyasi nokuba nonyiza
Stress aluma mbu nabamu abakozza
Naye baaba teri kiruma nga njala ku nsi kabulaaza
Ffenna lubuta yensonga gaana oba kkiriza
Enjoka zitokota nga tolina sowaani mwokoza
Simanyi lwaki ennaku zino ssente zaabula🤔
Naye enjala ekuluma ne bwe webuzabuuza🎤

HOOK
🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba
Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba
Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba
Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa🎙

CHORUS
🎵Ndaaga lwa njala
Nyongeraayo ku mmere endala
Anti akafa omukutto tekaluluma, 
Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa
Ahhhh
Ndi wa mmere yange
Ndi wa ssente zange
Enjala eruma ennaku zino (BADMAN!)
Temanyi mukulu oba muto🎵

Verse II
🎤Bagamba love eruma nga ulcer tezzinakufuna
Nze enjala nagivaako kuba teri kigifanaana
Abayaaye mu tonninnyira nnyongeraako tabava ku mimwa
Nkuba double bwemba ssikuse nze siri ku njala
Singa tewali njala singa tetukola
Singa tusiiba waka remote ku TV netuwwumula
Ku beach sun bathing amagulu netugolola
Nabatunda ebintu wonna bandibadde tebabiseera
Naye enjala egenda nekuluma nowulubala 
Nokulowooza  ebyamakulu oba tosobola
Omuyaaye nga akkusse akutunuliira abadala
Naye nga yamulumye,
Oyinza okulowooza yanywedde obukomera🎤

Hook
🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba
Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba
Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba
Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa 🎙

Chorus
🎵Ndaaga lwa njala
Nyongeraayo ku mmere endala
Anti akafa omukutto tekaluluma, 
Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa
Ahhhh
Ndi wa mmere yange
Ndi wa ssente zange
Enjala eruma ennaku zino(BADMAN!)
Temanyi mukulu oba muto🎵

Verse III
🎤Obuzibu obuli wano ssi kulinnya kwa Dollar
Ssi bulwadde butuluma naye butono bwa makungula
Omusana gugenda ne gwaka ebimera ne bisiriira
Naye akamwenyumwenyu kajja nga akakuba katonyerera
Ne bwolinnya ennyonyi enjala ogenda nayo e bunayiira 
Naye afazaali bweba tekuluma obaako wotandikira
Oyiiya ku mulimu obeera namaanyi agakola
Nebwodda ewaka nga bakkusse bonna nno bakusanyukira
Embeera ekyankalana nga ku makya tewafunye kyakulya
Ate nga nekyemisana ndobo gyokipangira
Bwotunuliira abakkuffu wenna emeeme nekukkirira
Ate bwoba tolinna nna kyaggulo embaga negwa nebidaala🎤

Hook
🎙Kati nno nyongera ku ssupu maama kikaaba
Tompa mukeno ssenera okumpi wano wendaba
Teeka ku sowaani eri ennene yesobola ebyengaba
Ndyoke nkulage omukolo bwenguweesa ekitiibwa 🎙

Chorus - X2 
🎵Ndaaga lwa njala
Nyongeraayo ku mmere endala
Anti akafa omukutto tekaluluma, 
Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa
Ahhhh
Ndi wa mmere yange
Ndi wa ssente zange
Enjala eruma ennaku zino (BADMAN!)
Temanyi mukulu oba muto🎵

🎵Ndaaga lwa njala
Nyongeraayo ku mmere endala
Anti akafa omukutto tekaluluma, 
Njagala kwemiinsa mukyala tondwisa
Ahhhh
Ndi wa mmere yange
Ndi wa ssente zange
Enjala eruma ennaku zino(BADMAN!)
Temanyi mukulu oba muto🎵

Credits
Composed and written by St. Maxi Mayne 
Audio produced by: 
DAUSON MAGIC and EYO KAYAAZI




Download the MP3



Advertisement


More Lyrics From St.%20Maxi%20Mayne


Njala | St.%20Maxi%20Mayne
919 Views



Newly Added Lyrics


Kati Nanga | Winnie Nwagi
12942 Views

Ten Over 10 | Azawi
15183 Views

Jeguli | Zafaran
5619 Views

Siri Safe | Acidic Vokoz
11699 Views

Byowaba | Bebe Cool
3521 Views

Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
4262 Views

Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
3549 Views

Wana Wankya | BentiBoys Africa
11699 Views

Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
12074 Views

Dont Stop | Bebe Cool
6034 Views


View More Lyrics

Advertisement