INTRO Nze muyita maama Katonda [aaa ah] Ow\'okunsi ajjanjaba emitima Yelugendo omutali misanvu [aaa ah] Ntambula sitya ndi ku kigambo kya maama VERSE 1 Nkusabira ewa Katonda maama Binji byosinga oli kirabo gyendi Osinga n\'ebiwoomerera maama Namatira omukwano gwa maama Nze mummy bwentyo wendi Mmanyi nakutawanya [maama] Naye tewankuza bubi [maama] Mukama akubeererewo Watuyisa mu mannyo g\'empologoma N\'ongumya nti walibaayo essuubi Essaala gyenkusabira mmanyi Katonda naye agyiwulira Kankulembere essaala CHORUS 2X SIKUSABIRA KATONO [aaa ah] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE SIKUSABIRA KATONO [aaa ah] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI VERSE 2 Nze akalulu akange ka maama [aaa ah] Nze mutenda bisoko obutakoowa [maama] Nemubizibu ebinji Mummy takoowa Kale muwaane ntya Maama yabonaabona okutukuza Ba maama beebagumira obulumi Gwe omwana oliguddawa kale omusango mu maaso ga Katonda nga ovumye abakadde CHORUS 2X SIKUSABIRA KATONO [aaa ah] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE SIKUSABIRA KATONO [aaa ah] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI VERSE 3 Omuzadde gwe kitangala eky\'okunsi Maama gwe mikisa [maama] Nebwengula ebirunji nze mbitwalira maama Okunkuza yatoba nnyo Nga asula teyeebaka [bambi] Muttumbi n\'azuukuka n\'abikka Bwendwala asula ku tebukye Ebyo maama y\'abitegeera Nze maama wootali mbanga ekisiikirize ekitaliimu byewogomye Nsaba Mukama ebyakusobako abikusonyiwe nze nsasulire Gano amaviivi tegannuma kuvunnama nga nsabira maama Olaba omusana tegujeemera Mukama nebwegunyumirwa ennyo okwaka era buziba REPEAT CHORUS SIKISABIRA KATONO [katono nyooo] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE [nze musaba binene] SIKUSABIRA KATONO [maama wangeeee] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI [ggwe asingaaaa] SIKUSABIRA KATONO [iyeeeee] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE [mmusaba binene] SIKUSABIRA KATONO [uhmmm] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI [nnyooooo] SIKUSABIRA KATONO [ewa Mukama] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE SIKUSABIRA KATONO [nze mmusaba binene] SIKUSABIRA KATONO [maama wangeeee] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI [ggwe asingaaaa] SIKUSABIRA KATONO [iyeee] EWA MUKAMA MMUSABA BINENE [mmusaba binene] SIKUSABIRA KATONO [uhmmm] EWA MUKAMA MMUSABA BINJI [binji nnyooooo]
Advertisement
Feeling | Sarah Musayimuto
1047 Views
Mama Nkusabira | Sarah Musayimuto
1841 Views
Gwensinza | Sarah Musayimuto
1181 Views
Nateleza | Sarah Musayimuto
1075 Views
Jaribu | Sarah Musayimuto
1030 Views
Nseyeya | Sarah Musayimuto
1244 Views
Kati Nanga | Winnie Nwagi
8755 Views
Ten Over 10 | Azawi
12045 Views
Siri Safe | Acidic Vokoz
8273 Views
Byowaba | Bebe Cool
3269 Views
Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
4015 Views
Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
3194 Views
Wana Wankya | BentiBoys Africa
10875 Views
Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
11295 Views
Dont Stop | Bebe Cool
5689 Views
Advertisement