Olina Kyononya, Ask Me??



Lyrics
Kokirabe By Sir%20Mathias%20Walukagga


1384 Views

Download the MP3


Intro
Yaled

Yeah
Reign nnyumiddwa
Maulana owulidde otya?
Eno endingidi nkambwe nnyo

Verse I
Ground yajja neekusuuta
Bwe wali oli musawo
Ngabalwadde tobajuza
Ngokwata obudde olina care
Nga nempiso zo tezibaluma
Ngate oli wa layisi
Clinic yo neganja
Nga bawona baleeta nebirabo
Okuva e Bweya ne Bule
Buli alwadde nakweyunira
Nga bayimba musawo aliko
Nobudde bwokulya ne bukubula
Gye baakoma okujja mu bungi
Ate gwe kwe kumera amalala
Ssaako okweyita omugezi
Ngobaboggolera nokuvuma
Ensi yonna olwakuwaana
Omulamwa nogubuuka
Ngobudde ojja bwoyagala
Ate nobalaga nti teweetonda
Obadde ombuuza ekyakukyaya
Abalwadde obutakyakulaba he!
Kasita wava ku mulamwa
Ne tumera ebiwaawa ne tubuuka

Chorus
K’okirabe
Wafuna amalala omulamwa noguvaako
Ffe twamera entondo
Bakaasitoma bo
Omusoga akoba kokibone
Wafuna amalala omulamwa noguvaako
Ffe twamera entondo
Ekyo kyekyatubuusa

Verse II
Ekyakukyaya omufumbi wemmere
Wabitandika obega nnyingi
Akatungulu nessamuli
Nga nokwongeza tekikuluma
Bakaasitoma mu kuggya abangi
Nga tokyasiika ne wefumba
Ne kobega ne keeveera
Ne kaba ngakatega ddala emmese
Gwe owa takisi ekyakukyaya
Mu kusooka yali nnyonjo
Owengoye ka zibe njeru
Nga zivaamu ziri clear
Walinga ovuga mpola
Nga ne bwe wajja endala kebe nkalu
Nga bagamba tulinda ya Musa
N’obwana tulinda ya Muca
Awo nomera obwebindu
Takisi nga tokyagyoza
Speed mu makoona nodiima
Okujja otwewanisa emitima
Nokuduuluka nokuyiga
Atayagala ngeri gye mbavuga
Agende avuge eyiye
Nakoowa amateeka gabaavu
Kati abasaabaze baakubuuka
Ne takisi ovuga nkalu
Tolina njogera na mpisa
Otandise na kugenda mu basawo

Chorus
K’okirabe
Wafuna amalala omulamwa noguvaako
Ffe twamera entondo
Bakaasitoma bo
Omusoga akoba kokibone
Wafuna amalala omulamwa noguvaako
Ffe twamera entondo
Ekyo kyekyatubuusa

Bridge
K’okirabe
Hmmm ground yekuleeta
Era bwe wepanka y’ekuggyawo

Verse III
Munnabyabufuzi gwe
Bwe wali osaba okukulonda
Ensonga kwe wasinziira
Watugamba kizibu ozivaako
Olwatuuka ne wefuula
Nga towakanya ate nga toteesa
Noswaza baakulonda
Emmandwa Kirya ngemaze okukulinnya
Empungu mwetalya mu bire
Baakulinda madda wansi
Baali bali awo nga zireese ho!
Ne balonda akuliraanye
Omuyimbi yanguwa onziremu
Wasooka notulasa omukiri
Naffe ne tukwagala bitya!
Ngagukoowa yateguka
Bwe wadda twakeera okujja
Okusinga bwe twali olulala
Wajja weesunye ebyenge
Nga nembwa ogiyita engwa
Watuuka na ssaawa munaana
Nkugambye ne weekola obusolo
Nogattako okuvuma abaliwo
Ani amanyi okuyimba ku mbwa mmwe?
Kati wakyayibwa abantu
Olwomulamwa okugukongokako
Bapulomoota baakukuba ddolera
Ne ground tekyakusubwa
Kokirabe

Hmmm
Omuzimbi ekyakukyaya
Okusooka wali mwesimbu
Nga toliimu bya ngalo mpanvu
Wazimba nogumya nowoomya
Mu kukwettanira abangi
Ko ggwe kankube bi ffala
Ngozimba nkole mmale
Nzimba eri enkya nzimbe n’eri
Ngozimbisa abakyayiga
Ne cement nomusoma
Kati ennyumba tebakyazikuwa
Obadde ombuuza ekyakukyaya
Makanika wansobera
Okugyabiikiriza kwakusukka
Osaba ssente eza spare
Ne nkwesiga ne nzikuwa
Ne ntambula ne Å‹enda
Ekyuma kyondaze nti kyekivaako obulemu
Bwe nkukuba omugongo
Nokizzaamu ne wesaanya
Olisimbula nekwaama
Ddala nga lwaki ssikukyawe?
Wapalappalanya ne we palappalanyizaamu
Wettira akalimo
Paasita ekyakukyaya
Watuuka notuuba hi!
Ekyali ekyekkumi
Ate emiwendo ne gyekanama
Ebintu bya Mukama
Nobigattamu obungodiira, ha!
Mbu nendiga noziganza
Kinyoozi ekyakukyaya
Watandika osala nonyiriza
Aftershave nosaaba
Ne ka scrub nokuuba
Gye twakoma okujja mu bungi
Ngomala gga, hmmm
Okwemanya kwakusukka
Kati twadda mu Nyendo wa Baker
Nkutte mu lwengabi
Mayor Kyengera Town Council
Mwebale akalulu
Ggundaggunda Magulunnyondo




Download the MP3


Advertisement


More Lyrics From Sir%20Mathias%20Walukagga


Kokirabe | Sir%20Mathias%20Walukagga
1385 Views



Newly Added Lyrics


Kati Nanga | Winnie Nwagi
12905 Views

Ten Over 10 | Azawi
15154 Views

Jeguli | Zafaran
5610 Views

Siri Safe | Acidic Vokoz
11675 Views

Byowaba | Bebe Cool
3520 Views

Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
4258 Views

Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
3544 Views

Wana Wankya | BentiBoys Africa
11697 Views

Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
12061 Views

Dont Stop | Bebe Cool
6028 Views


View More Lyrics

Advertisement