Olina Kyononya, Ask Me??



Lyrics
Akatambala By Da%20Agent


5287 Views

Download the MP3


Intro
Savaam Music
Andre on the Beat

Bridge
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere
(Bbo, bbo bbo, bbo)

Chorus
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Towuubira mulala
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Wuuba wuuba wuuba wuuba

Verse 1
Bwe ntuuka mu kifo
Bazina bagamba Agent y'aliko
Tomweyimbamu mulabire wala
Muyoozi akuba ebigwo
Ziba nseko buba bukule
Olw'ebigambo by'alina entoko
Akukubira mu mazzi ku lukalu
Mu bbanga akulumba ne mu nsiko
Akayimba ko ka ddalu
Kati buuka nga gwe basaze embalu
Atasobola kubuuka gwe teweemenya
Kongojja nga kangaroo
Essanyu lite
Jaganya abamu ku ffe tebalina magulu
Ebizibu n'ennaku ffenna tubirina
Naye tetubyetimba ku ngulu
Ggya emitaafu mu kyenyi
Ba mudigize toba mulwanyi
Si kubye lingala
Naye nkuleetera okwenyoola ng'ekisanyi
Nga Elly Wamala bw'oba ojjukira
Nze ani yali ammanyi?
Gundi magaamaga Omuganda, Omusoga
Omukiga, Omunyankole gwe mugambe

Bridge
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere
(Bbo, bbo bbo, bbo)

Chorus
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Towuubira mulala
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Wuuba wuuba wuuba wuuba

Verse 2
Lugaflow Embassy
Nseeyeeya kuli ng'alina enkasi
Ssi bunkenke genocide y'Abahutu n'Abatutsi
Mpa paasi ngolole abalina amavuunya mu lyrics
Kabeepike mbawangule mu ggeyeena
Mu ggulu ne ku nsi
Bbugumu ne mu butiti
Nkuzinisa Bakisimba, Muwogola
Bulamu bw'ensi buba ng'emmotoka
Abulina kati vulumula
Ani akuba buli kigoma?
Sirika cce tobalabula
Atemaatema ebigambo oluusi
Asooka na bitwala mu lufula
Munsiime, bwe n'ajja
Nze n'ajja n'ekyange mu industry
Ba follower kati nabo bawera
Nafuuka factor tree
Kamulali nze chilli
Mu bino ebigoma nze referee
Nali nafuuka musirifu
Naye kati ebbugumu lingi
Yita akuliraanye mugambe

Bridge
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere (Bbo)
Mugambe awuube akatambaala
Bw'agaana mukwate omuboggolere
(Bbo, bbo bbo, bbo)

Chorus
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Towuubira mulala
Wuuba akatambaala
Towuubira mulala
Mpuubira akatambaala
Wuuba wuuba wuuba wuuba

Outro
Yo! Mu Lugaflow (Mu Lugaflow)
Nze alina bbendera
Yo! Hmm! Togikwatako
D A to the G to the E N T




Download the MP3


Advertisement


More Lyrics From Da%20Agent


Akatambala | Da%20Agent
5288 Views



Newly Added Lyrics


Kati Nanga | Winnie Nwagi
14140 Views

Ten Over 10 | Azawi
16119 Views

Jeguli | Zafaran
6087 Views

Siri Safe | Acidic Vokoz
12729 Views

Byowaba | Bebe Cool
3567 Views

Ntya featuring Winnie Nwagi | Zex Inchi Kumi Bilangilangi
4307 Views

Gwokya Nga Omuliro | Lydia Jazmine
3595 Views

Wana Wankya | BentiBoys Africa
11808 Views

Take It Slow featuring Winnie Nwagi | Vyper Ranking
12275 Views

Dont Stop | Bebe Cool
6115 Views


View More Lyrics

Advertisement